By Ronald Kibuuka
Lwaki Uganda eyitibwa Ekuula lya Afrika? Kino kiri bwekityo kubanga, mu mwaka 1907 Sir Winston Churchill yajja mu Africa n’akola okunoonyereza ku mawanga ga Africa ku nkomerero y’olugendo lwe n’awandiika ekitabo kye yatuuma “The Journey to Africa" mwe yagamba nti Uganda Kuula lya Africa, ekitegeeza nti Uganda yeyali esinga ensi obulungi ebimu ku bye yazula. Ekuulu kitegeeza ejjinja ery’omuwendo.
Ng’ akabonero k’obulungi tekasangibwa wonna mu nsi oba mu Africa kino kyasinziira ku mbeera y’obudde n’obudde obulungi, kiragala omukwafu n’ebimera okuva ku nsalo okutuuka ku nsalo, ebifo by’amazzi amayonjo mu ngeri y’ennyanja, entobazzi z’emigga, n’enzizi, Ettaka eggimu n’e birala Ebintu ebirabika obulungi, Ebibira, Uganda efuna sizoni z’enkuba bbiri mu mwaka, Uganda eri ku equator, eby’obugagga eby’omu ttaka ebya buli ngeri omuli amafuta ne ggaasi n’ebisolo by’omu nsiko
Okusinga byonna Katonda yabituwa okubikozesa okukyusa ensi n’ebivaamu ebisikiriza mu Uganda. Bwetuda mu layini y’obulimi olw’embeera y’obudde ennungi. Ebyobulimi byafuuka omugongo gw’ebyenfuna bya Uganda, nga bikozesa ebitundu 70 ku 100 (70%) ku bantu, era nga bikola kitundu kya nsimbi Uganda z’eyingiza ebweru w’eggwanga n’ekitundu kyakuna eky’ebintu ebiva mu ggwanga (GDP). Banna Uganda ababeera mu byalo abasinga balima, no’ kusonda ssente z’ebyobulimi – ekintu ekikulu mu nteekateeka ya Uganda nenkulaakulana yayo mu kukendeeza obwavu, okutumbula obugagga, n’okutondawo emirimu naddala eri abakyala n’abavubuka.
Ekyavaa mu, abanna Uganda abatalina kisa bassa akazito ku butonde bw’ensi ng’okwokya amanda, okutema emiti awatali kufaayo nga batyoboola ntobazzi n’ebirala kivirako okutabanguka kwe mbeera y’obudde n’obucaafu obw’amaanyi ebyeyongedde eri obutonde nekivirako okudobokana mu byobulimi obuteyongera mumasso era kiremeseza okutuuka ku busobozi obw’amannyi nekivirako ebyenfuna n’okufuula ennima embi nekitatana amagoba eri abalimi ba Uganda.
Ebyokulabirako entobazzi mu Uganda zakendeera okuva ku bitundu 15.6% mu 1994 okutuuka ku bitundu 8.9% byokka mu 2019 kitongolere ekikwasagannya obutonde kyagezako okulaba nga kidamu okutereeza no’kwekenneenya okusembyeyo kulaga nti enzizi ezitaliiko kamogo zakyukamu katono okutuuka ku bitundu 9.3%. Ekirala, bwe tugenda mu nsi endala nga e Bulaaya, ssemazinga ono alina ebitundu 56.3% eby’entobazzi ebibikkiddwa bibadde bityobooddwa Mumambuka g’ America kubintundu 56% ekivaako okutta abantu, n’eddirirwa Asia kubintundu 45.1%, Oceania 44.3%, ne Africa kubintundu 43%. Omuwendo gw’entobazzi ezifiiridde mu kiseera kino gukulembeddwa Asia, n’eddirirwa Africa kubanga wetukyalina enzizi nnyingi ez’omunda era emiwendo gy’enkulaakulana gye gisinga.
Wabula singa twesitula ne tugamba nti tewali kusuula kasasiro w’ebintu ebikolebwa mu buveera nebirala ebiringa ebyo, nga okukomya okutema miti, Ekomo kukwokya amanda wamu n’okussa ekitiibwa mu ntobazzi/Nemiigga, nokwongera okusimba emiti egyemigasso. Nekisinga byonna kwekwongera okumanya kwaffe n’okwagala kwaffe eri Nnyaffe Uganda no’ kukuuma Kitibwa kyegwanga lyaffe Uganda Ekuula lya Afrika nga, gyetuja okoma nokuba nemmere nnyingi, amazzi amayonjo, n’obutonde obulungi.
Comments